59
OKWOGERA KWA KATIKKIRO MU LUKIIKO LWA BUGANDA NGA 11 MUZIGO, 2015 I. OKULAMUSA ABAGENYI MU BITI BYABWE. Nnyaniriza abakiise b’Olukiiko mu lutuula luno olukomekkerezza omwaka gwaffe ogw'okubiri okuva Ssaabasajja Kabaka lweyasiima nannonda okumulamulirako Obuganda nga 12 Muzigo 2013. Omuko 1

Katikkiro address to Buganda Lukiiko on May 11, 2015. Full Text

Embed Size (px)

DESCRIPTION

Katikkiro Charles Peter Mayiga address to Buganda Lukiiko on May 11, 2015. Full Text

Citation preview

OKWOGERA KWA KATIKKIRO MU LUKIIKO LWA BUGANDANGA 11 MUZIGO, 2015I. OKULAMUSA ABAGENYI MU BITI BYABWE.Nnyaniriza abakiise bOlukiiko mu lutuula luno olukomekkerezza omwaka gwaffe ogw'okubiri okuva Ssaabasajja Kabaka lweyasiima nannonda okumulamulirako Obuganda nga 12 Muzigo 2013. Ku lwa Kkaabineeti yonna wamu ne ku lwange, nneebaza Katonda atubeedde n'atutambuza olugendo luno olw'emyaka ebiri era mmanyi akyatubeera. Abagenyi baffe abalala abazze mu Lukiiko luno mwenna mbaanirizaSsaabasajja Kabaka gyali mu Lubiri lwe, ateredde ntende alamula. Tumukulisaayo mu kulambula Essaza lye ery'e Buluuli sabbiiti ewedde okuviira ddala nga 1 - 2 Muzigo 2015 era tusiima Bannabuluuli olw'ennyaniriza ennungi ate ey'ekitiibwa.II. Amazaalibwa ga Kabaka ag'emyaka 60Nga 13/4/2015 twakuza amazaalibwa g'Omutanda era emikolo gyagenda bulungi nga gyali wano ku Mbuga enkulu , Bulange, Mmengo. Tuyoozayooza Ssaabasajja okutuuka ku Mazaalibwa ge ag'emyaka 60 era twebaza Nnamugereka olw'ekirabo eky'obulamu.iii. Okusaasira Abafunye ebizibu:Eyali Supreme Mufti, Sheikh Zubairi Kayongo yafa era n'azikibwa e Kiboga. Mufti oyo twali naye wano ku mukolo gw'amazaalibwa g'Omutanda. Eyaliko Omukuumi wa Kabaka, (ADC) , Katende yafa era n'aziikibwa mu mwezi ogw'okusatu 2015. Abakungu ba Ssaabasajja abalala basatu baafiiriddwako abantu baabwe: Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Kayiira Gaajuule, yafiirwa kitaawe; munnamawulire Sam Dick Kasolo yafiirwa mutabaniwe abadde abeera mu Bungereza,(omulambo gusuubirwa okutuuka sabbiiti eno); ssenkulu wa Kabaka Foundation Edward Kaggwa Ndagala, yafiirwa maama we; nnankulu wa Nnamulondo Investments, Lillian Kaddu, naye yafiirwa Maama we. Tubasaasidde nnyo bannaffe era tusaba Mukama Katonda abagumye era abayise mu kaseera kano akazibu.Ate nga Uganda twafiiriddwa Ivan Kyayonka, abadde ssentebe wa bboodi ya NSSF. tusaba Katonda agumye abantu be.Omuwanika wa Buganda, Owek. Nagawa Mukasa naye yalongoosebwa evviivi gyebuvuddeko. Kati agenda abeera bulungi.IV. ENNYANJULA. Nga tumaze okukwasibwa obuvunaanyizibwa twatandika okukubaganya ebirowooozo ku ngeri gye tunaatambuzaamu emirimu.Nnatuuza enkiiko za Kkabineeti ezenjawulo, mwetwayita nabakulira ebitongole byaffe tusalire wamu amagezi ku nsonga enkulu ze twali tusaana okusimbako amannyo mu ddimu lyokuzza Buganda ku ntikko.Twagenda ne mu lusirika, era nalwo lwetabwamu abakulira ebitongole ne bboodi ezitali zimu tusobole okukkaanya ku nsonga enkulu ze twalina okusoosowaza.Twasooka ne tulambika ebiruubirirwa nebyetaago bya Buganda; bwe tutyo twabiwumbawumba mu Nsonga Ssemasonga Ettaano.Twasoosowaza ensonga nnya(4) nga tuzisimbuliza mu Nsonga Ssemasonga Ettaano:- Okunyweza, okukuuma nokutaasa Nnamulondo; Okumaliriza Amasiro ge Kasubi nage Wamala; Okumaliriza Ennyumba Masengere; Okutereeza enzirukanya yemirimu.Mu nsonga yOkutereeza Enzirukanya yEmirimu twajja nEnkola eyOmulembe Omuggya, ngerimu Ennyingo nnya(4): Obuyiiya; Obwerufu; Obunyiikivu; nOkwagala. Bwe tutyo twakkaanya ku nteekateeka Nnamutaayiika eyemyaka etaano (2014 - 2018), nga yeesigamiziddwa ku ebyo bye twasoosowaza.Mu byo mulimu ebyenjigiriza (nga essira tulissa ku masomero/emisomo gyemikono); ebyobulamu (ngessira tulissa ku bujjanjabi obusookerwako, okwetangira endwadde, obujjanjabi obwekikungo[ensiisira zobulamu], namalwaliro amatonotono); okuzzaawo ensuku nemmwanyi (ngessira tulissa ku kugaba endokwa); ate nokukuuma obutonde bwensi.Mu nteekateeka Nnamutaayiika, ekyokukuuma, okutaasa nokunyweza Nnamulondo kyo kyalubeerera era tekirina bbanga ggere. Ate Ensonga yAmasiro; Masenger nokutereeza enzirukanya yemirimu, ebyo twabissaako nsakesale wa myaka ebiri - kati gyetumazeeko.Kitaffe, Ssaabasajja bweyali aggulawo Olutuula lwOlukiiko lwa Buganda nga 12 Muwakanya, 2013 yasiima enteeka eyo gyetwali tulangiridde. Ate bwe yali aggulawo Olutuula lwOlukiiko nga 18 Muwakanya, 2014 yatugamba tujje ebirowoozo mu mpapula tubizze mu bikolwa.Awonno nga tusemberera okumalako omwaka ogwolutuula lwOlukiiko kati tulina okuwoza olutabaalo, nga tutunuulira ebyo byetwewa okukola nokulaba we tubituusizza mu myaka ebiri egyobukulembeze buno obwatukwasibwa.Bwennamaze okutuula ne bannange bwetutambuza emirimu gya Buganda twasazeewo nti Olukiiko olukulembera okusoma nokuteesa Embalirira (Budget), era nga lwelwo olusemberedde omwaka ogwa Ddamula, gube gwa kuwa kifanaanyi ku mirimu nembeera bweba eri mu Bwakabaka.Kaakati lwe Lukiiko luno. Ngenda kuyita mu ebyo ebituukiddwako; ate ne bikyatusoomooza. Oluvannyuma nja kubabuulira kye tuzzaako mu kaweefube ono gwe tuliko owEttoffaali.V. EBISOBODDE OKUKOLEBWA MU MYAKA EBIRI:Munzikirize nnambikire Olukiiko luno n'eri Obuganda bwonna ebituukiddwako nga tuyita mu Minisitule ez'enjawulo.A. Okuva mu Minisitule ey'Omumyuka asooka owa Katikkiro era Minisita w'Ensonga za Buganda ebweru.1. Abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda baluamiziddwa ku nsonga ezigenda mu maaso mu Buganda era amakkakkalabizo ag'enjawulo gaguddwawo e Busoga, Bugisu ne Busia. Mu makakkalabizo gano abantu ba Nnyinimu abatudde mu bitundi ebyo basobola okufuniramu amawulire agafa embuga nebiwandiiko ebitongole ate ebikulu.2. Minisitule eno yateekawo enkola ekubiriza abantu ba Buganda abali ebweru okuba obumu ate nokukwana emikwano egy'omugaso eyo gye bali.gyebali. Enkola eno ya mugaso era twalaba nobukulu bwayo bwetwakyalako mu mu Ankole, Busoga, Bukedi ne Bugisu. Twabatikkula nEttooffaali lya bukadde obwasoba mu 180 bonna wamu, mu bitundu ebyo. Ate ebweru wa Uganda (Bungereza, Swideni, Kkanada nAmerika) enkolagana nobwasseruganda byatusobozesa okutikkula obukadde 435. Ku ezo obukadde 235 twabulekera abomu Amerika (Boston) zigende ku kugula eddwaliro-mutambuze (Mobile Van Clinic) erinaayamba mu bujjanjabi bwekikungo/ensiisira zobulamu. Abantu ba Beene baatusuubizza okugitukwasa bwetunaaba tubakyalidde mu sabbiiti nga bbiri okuva kati.3.Ssaabasajja Kabaka yalonda ababaka be abakulira abantu be abasangibwa mu Amerika; Bungereza; Swideni; Kkanada; South Africa ne Swaziland. Mu Amerika ne Kkanada baatonzeewo nolukiiko ttabamiruka olubagatta olwatuumiddwa Buganda Bumu North American Convention [BBNAC]. Okuva nga 19 Muzigo 2015, nja kubeera mu Los Angels ne Boston okuggulawo olukuana luno, era lwe lukiiko olutongolelugatta abantu ba Ssaabasajja bonna mu Canada ne Amerika. Ababaka be South Africa ne Swaziland baakutongonzebwa mu mwezi ogwa Muwakanya 2015.Ababaka abebweru baakoleddwa ennambika yentambuza yemirimu gyabwe; omuli okuba nobukiiko; ababayambako; okutuuza enkiiko nokuwa alipoota buli luvannyuma lwekiseera ekigere.Abantu ba Ssemunywa abali ebweru baatusaba tubakolere enteekateeka y'omukutu gwa bbanka eyomutimbagano (Internet Banking) naye wabaddewo akasoobo okumaliriza enteekateeka eno. Bweneggwa tusuubira nti ejja kusobozesa bannaffe abo nabo okwenyigira mu kkatala lyokuzimba Buganda nga bagula satifikeeti nebirala, nga bayita ku mutimbagano.Nga bwe mumanyi bazzukulu ba Nnambi bangi abasangibwa mu Ankole (e Bunyaruguru) ate nabalala bali mu bitundu ebirala nne Lango (Lira). Kyokka ne mu nsi za Bulaaya endala gye bali. Enteekateeka ekolebwa nabo basobole okumanya ebifa embuga ne mu Buganda buli lwe baba bakyetaaze.B. Minisitule y'Obuwangwa, Ennono, Amasiro n'Obulambuzi:Omulimu gw'okuzzaawo Muzibwazaalampanga gugenda mu maaso era nga mu kiseera kino okusereka n'okuwunda ennyumba kye kigenda mu maaso. Bbuggwe w'Amasiro yaggwa dda era n'ayooyotebwa bulungi n'emmuli. Ennyumba endala eziri mu Masiro nazo zaalongoosebwa era n'omulimu gwamasannyalaze gamaanyi genjubaa (solar power) gwaggwa. Gusuubirwa okukwasibwa Katikkiro ku Lwokubiri nga 13 /5/2015.Tuli ku mulimu gwokuzimba ttanka ya mazzi eyomuttaka ya lita 200,0000. Guno omulimu teguliiko buzibu, okujjako ensimbi. Ssaabasajja yasiima n'alonda Bboodi y'Ennono n'Obulambuzi netongozebwa nga 21/3/2014, okukuuma, okuyoyoota, okukulaakulanya, n'okutumbula ebifo eby'obulambuzi wonna mu Buganda era Ssentebe wa Bboodi eno ye Dr. Gladys Nalubowa Kalema Zikusooka. Ssenkulu waayo ye Christopher Ssebuliba.Nsuubira okufuna alipoota okuva ewa Minisita agitwala, Owek.Rita Namyala Kisitu, tusobole okutegeera bwebakanyemu nemirimu.Amasiro g'e Wamala gasemberedde okuggwa nga wetwogerera ennyumba Batanda-Beezaala eri mutendera ogwokuwundibwa munda. Obuzibu obuliwo buli nti okuwunda nokunaaza Batanda-Bezaala kwetaagisa kumpi obukadde 200. Kyokka kya ssanyu okulaba nti Ssekabaka Ssuuna II enkuba eno ennyingi ettonnya temutuukako nakamu.Ennyanja ya Kabaka: Ssaabasajja yasiima n'alonda akakiiko nga kakulemberwa Kenneth Ssemwogerere(PhD) ne katongonzebwa nga 10/10/2014. Omulimu gwako kwali okwekenneenya engeri gyetusobola okutaasa ennyanja eno ereme kusaanawo olwengeri gyetyobolwamu kati, ate nga kino kitutte ebbanga ddene nnyo. Akakiiko kano kaaweebwa emyezi mukaaga (6) era kaamaze okutuwa alipoota. Kkabineeti yamaze okugiteesaako.Oluguudo Kabakanjagala

Katikkiro John Baptist Walusimbi yasaba KCCA okuddaabiriza oluguudo luno.

Ate nze bwennasookaokusisinkana Nnankulu wa KCCA ne mmusaba alusseeko amataala. KCCA yakwatagana ne Minisitule yaffe mu nteekateeka zokuddaabiriza oluguudo. Kati lwaggwa; ettaala zassibwako; ate okusimba emiti gya Kabakanjagala emipya gyatongozebwa Cuucu nga 30 July 2013.

Nnyongera okukubiriza abantu bonna mu Mmengo nabayitamu okukuuma emiti gino butiribiri; ate nobutabba mataala ku luguudo lwa Nnyininsi luno. Enkulungo Nnantawetwa yawomemwamu omutwe Omuky. Jennifer Musisi, ye ngomuntu, era nakungaanya mikwano gye ne bakungaanya ensimbi ne yooyootebwa nga bwemugiraba. Nnantawetwa yatukwasibwa nga 9 Kafuumuulampawu 2015. Wakyaliyo ebintu byebagenda okussa ku nkulungo eyo era ennaku zino mulaba baddamu okutwala omulimu mu maaso. Muky. Musisi yangumya nti ye ne banne bajja kugumalira ddala. Sirema kwebaza KCCA ne Muky.Musisi olwokufaayo ku bifo ebiggyayo ekitiibwa kya Buganda. Munajjukira nti KCCA ye yazimba akabalaza aketoolodde Masengere. Ate era nnabasaba Muky.Musisi KCCA etuuse kkoolaasi ku Lubiri e Bbanda ngoyitidde e Ntinda, era ne bakikola. Nnamusabye asseko namataala. Tulindiridde lwe ganaayaka! Meeya nolukiiko olufuga ekibuga kye Kira nabo twabasaba balongoose oluguudo olutuuka ku Lubiri e Kireka Basseeko namataala. Baasobola okuzimba emikutu egitwala amazzi ate namataala baatandikira ku wankaaki. Tulindiridde lwe ganaatuuka wansi oluguudo gye lutandikira. Ate Kaggo namagombolola ge twamusaba okukola bulungi-bwa-nsi oluguudo oludde ewa Magulunnyondo lubeere luyonjo.

Ebifo bino bikulu nnyo mu nnono zaffe, biraga ekitiibwa kya Buganda era nkakasa tebiireme kutumbula bulambuzi. Muky.Jennifer Musisi ne KCCA; Mw. Mamerito Mugerwa ne Kira Town Council; ate ne Kaggo Patrick Mugumbule na bonna abakoze bulungi-bwa-nsi tetulema kubasiimira ddala.

Njagala okubategeeza nti Omwoleso gw'eby'obulambuzi 2015, gwakubeerayo okuva nga 23 - 30 Muwakanya. Tukunga abantu ba Ssaabasajja bonna okujjumbira.

C. Wofiisi ya Sipiika

Olukiiko lwa Buganda lwaluamizibwa ku ngeri entuula z'Olukiiko lwa Buganda gyezinaatuulangamu Omwaka gwonna era kalenda y'olukiiko eyo yaweebwa buli mukiise. Tubasaba mugigoberere bulungi tusobole okutambulira awamu.

Obukiiko bw'Olukiiko lwa Bugannda bwalondebwa era buli mukaaga. Buli Kakiiko kaaweebwa obuvunaanyizibwa okuloondoola emirimu egikolebwa ebitongole by'Obwakabaka eby'enjawulo.

Obukiiko buno buvunaanyizibwa okwanjula Alipoota y'ebizuuliddwa mu Kaabineeti nezikubaganyizibwako ebirokwoozo ate oluvannyuma ne zitwalibwa mu Lukiiko lwa Buganda, nga bwe kiba kyetaagisizza.

Munzikirize nneebaze Omukubiriza wOlukiiko nOmumyuka olwokukulembera Olukiiko lwa Buganda luno Olukulu mu ngeri ennungi ennyo kasookedde Maasomoogi abakwasa buvunaanyizibwa buno. Enteereeza mu ntuula zOlukiiko nemirimu gyalwo nga bwetugirabye mu myaka ebiri naye ebadde ya mulembe ddala.

Ate nneebaza nnyo abakiise bonna olwobujjumbize. Mu bbanga lye mmaze mu Lukiiko luno ndowooza mu myaka ebiri egyakayita mwensingidde okulaba obujjumbize bwabakiise obwamaanyi ddala.

D. Wofiisi ya Ssabawoloreza/ Gavumenti ezEbitundu:

Minisitule eno eri mu nteekateeka y'okuwandiisa ekkakkalabizo lya Ssaabawolereza wa Buganda mu ggwandiisizo erifuga bannamateeka mu Uganda. Kino twagala okukikola Woofiisi ya Ssaabawolereza efune okwetongoze esobole okutambuza emirimu emingi ku ludda olwObwakabaka. Wetwogerera twamaze okuwandiisizaamu munnamateeka atuuliramu ddala, Twaha Mukasa. Awonno ebitongole byaffe mbikubiriza okwewala okuyingira mu nteekateeka zonna ezirimu amateeka nga tebyeyunidde woofiisi ya Ssaabawolereza. Twamaze dda nokusaba Abamasaza okutuweereza amannya ga bannamateeka okuva mu Masaza gaabwe abayinza okulondebwa nga abawolereza eyo wansi ku masaza. Kino tulowooza kijja kuyamba amasaza ku nsonga ezikwata ku mateeka ezigwawo mu masaza, ate mpozzi nokuyambako okugonjoola endoliito ezitali zimu abantu ba Kabaka zebandyagadde okumalira mu mbuga zabaami be. Ebitawuluzi bijja kutongozebwa ku Lunaku lwa Gavumenti Ez'ebitundu nga 30/5/2015 e Kyaggwe.

Omulimo gw'okulonda bannamateeka mu wofiisi z'Amasazza gugenda mu maaso ng'Amassaza 14 go gamaze okufunirwa Bannamateeka abaddukanya ensonga z'Essaza ez'Amateeka. Okuwandiisa Abayima mu bika nga bakolagana ne Kabaka Foundation: Twagala okuwandiisa enkiiko zabayima mu bika byonna. Kino kijja kwongera okukuuma ebyobugagga byebika ebyenjawulo. Tusaba obukulembeze bwebika byonna mu Buganda okukolagana ne wofiisi ya Ssaabawolereza ate ne Kabaka Foundation okulaba ngensonga eno ekomekkerezebwa bulungi. Gavumenti Ez'ebitundu

Ekitongole kino mu Minisitule eno kiunaanyizibwa okulaba nti Abaami ba Ssaabasajja bonna (Ab'Amasaza, Abamagombolola, Ab'emiruka, Abatongole), batuukiriza obuvunaanyizizbwa bwabwe kubanga ge maaso, amatu n'ebigere Gavumenti ya Ssaabasajja kwetambulira

Ebituukiddwako:

-okukwananganya omulimo gw'okulonda abakulembeze b'ebitundu naddala

Ab'amasaza n'aba magombolola bonna mu Buganda nga buli Ssaza kati lirina

Ow'Essaza n'Omumyuka.

-Okuteekateeka Olusirika lw'Abamasaza e Nnono mu Busujju, okubabangula ku

buvunanaanyizibwa n'enzirukanya y'emirimu mu mulembe omuggya.

-Okuteekateka e misomo gy'obukulemebeze mu massaza; Busujju, Mawokota,

Ssingo, Kyaggwe n'amalala.

-Enteekateeka ya Luwalo Lwaffe ey'okugula satifikeeti eyatandikibwawo Minisitule

ng'eri wamu n'ekitongole kya Majestic Brands, eyambye okuggumiza

obukulembeze bw'Abaami b'Amassaza.

-Minisitule yassaawo olukiiko olulondoola emirimu n'obukulembeze mu Massaza ga

, n'ekigendererwa eky'okwongera amaanyi mu nzirukanya y'emirimu eri

abaami ba Ssaabasajja.

-Minisitule era yassaawo okuvuganya mu Massaza era essaza eryasinga

Ssaabasajja ajja kusiima okulilambula ku lunaku lwa Gavumenti Ez'ebitunduu nga

30/5/2015. Omwaka guno Kyaggwe ye yawangula.

-Okubaga amateeka n'enkola eneruamya abaami mu nkola y'emirimu gyabwe

n'ekigendererwa eky'okukomya enkola eyalabibwanga, nga buli Mwami akola

nga bwalabye.

-Embuga z'Amassaza ne ggomolola ezimu ziddaabiriziddwa okugeza Kyaggwe,

Mawogola n'amalala.

-Okukubiriza abaami ku mitendera egy'enjawulo okwennyigira Obutereevu mu

nsonga z'okuzzaawo Amasiro ga Bassekabaka n'emu nteekateeka zEttooffaali. Nneebaza bya nsusso omulimu ogukoleddwa Abamasaza,; Amagombolola;

Emiruka nAbaami bonna ku nsonga zEttoffaali ne Luwalo Lwaffe.

-Olukiiko Olukulu olutwala Abaami b'Amasaza nalwo lwalondebwa nga lukulirwa

Kayima, Ow'Essaza lya Mawokota; omumyuka we ye Muteesa,

Omuwanika, ye Ssebwana ; Omuwandiisi ye Katambala; ate owa Mawulire ye

Kaggo.

E. Omuwanika wa Buganda:

Eggwanika lyongedde okunyweza enkola eyokulaba nti lye lyokka erukuanya ,

n'okukuuma ensiimbi zonna eziyingizibwa mu Bwakabaka okuva mu mikutu

egyenjawulo.

Ensonga eno nkulu nnyo ddala. Ssente zonna eziyingira mu Bwakabaka zirina

kukuumibwa Muwanika. Bwe wabaawo ekitongole ekyeterekera ensimbi kirina kukikola ku buyinza obuba bukiweereddwa Omuwanika.

Awonno tewali muntu yenna oba kitongole kyonna kikkirizibwa ku kungaanya nsimbi za Bwakabaka okujjako ngomuntu oyo oba ekitongole ekyo kikkiriziddwa Omuwanika. Mu ngeri yeemu tewali muntu yenna oba kitongole kyonna kikkirizibwa kusaasaanya nsimbi za Bwakabaka okujjako nga omuntu oyo oba ekitongole ekyo kifunye olukusa okuva

ewOmuwanika.

Eggwanika liwagidde enteekateeka z'enkulaakulana ezituukiddwako Obwakabaka bwa Buganda ngokukola omulimu gwAmasiro, okuzimba Olubiri lwa Namasole; okuzimbira

Omulangira Juma Katebe embuga nebirala.

Obuwagizi eri Minisitule zonna n'emirimu emirala.Minisitule z'Obwakabaka zonna ziwagiddwa Eggwanika mu nzirukanya y'emirimu gy'azo era buli kiseera eggwanika lwe lituukirirwa likola kyonna ekisoboka okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.

Okusasula Ensako - Emisaala / ensako y'abaweereza b'Obwakabaka esasulwa bulungi era

Eggwanika lifuba okusasula mu budde. Abaweereza ba Kabaka baaweebwa obujjanjabi mu

nkola ya yinsuwa y'eby'obulamu.

Eggwanika lyafuna omukozi avunaanyizibwa ku byensimbi; ng'ono ayamba okwekenneenya n'okulondoola ensimbi eziyingira n'ezifuluma mu Ggwanika. Omukozi ayitibwa Daudi Kikomeko. Omuwanika wa Buganda asiimye nnyo bonna abawagidde entambuza y'emirimu nga bavujjirira Obwakabaka okuyita mu Minisitule Ez'enjawulo.

F. Minisitule y'Ensonga z'Olukiiko, Kkaabineeti, Emirimu, Amawule n'Okwogerera Obwakabaka.

Okuteekateeka enkiiko za Kaabineeti okuteesa ku nsonga enkulu mu Buganda n'Olukiiko lwa Buganda okutwalira wamu. Olukiiko lwa Baminisita lutuula biuli luvannyuma lwa sabbiiti bbiri. Abantu ba Kabaka bafuna amawulire agafudde embuga buli ssaabiiti okuyita mu pulogulaamu ey'oku leediyo CBS eya "Agafa e Mmengo".

Tubakubiriza okwongera okugigoberera okusobola okumanya enteekateeka z'Obwakabaka bwezitambula. Okunoonyereza:

Bino bye bituukiddwako mu Kitongole kino:

-Minisitule esobodde okuteekawo ekuanyizo ly'ebitabo w'ebimsomerwa (Library).

-Okuteekawoekifo awakuumirwa ebiwandiiko ebikulu naddala ebyedda oba ebyenkizo.

-Minisitule ekuanyizza ebitabo eby'enjawulo ebikwata ku Buganda n'ebirala byonna.

G. Minisitule ya Ssemateeka:

Enteeeseganya z'Ebyaffe zikyagenda mu maaso era omwaka oguwedde Gavumenti yaddiza Obwakabaka bwa Buganda ebyapa ebiwererera ddala 212 . Omulimo gw'okubyekenneenya n'okutuuka ku nzikiriziganya ne Gavumenti gukyagenda mu Maaso.

H. Minisitule y'Ettaka, Obulimi n'Obutonde :

Nga 24 Kafuumuulampawu,2015 natongoza BUCADEF eddiziddwa obuggya, wano mu bimuli bya Bulange n'ekigendererwa eky'okutwala enkulaakulana mu bantu ba Ssaabasajja Kabaka nga nga tubawa amagezi ku nnima ennungi, endokwa ennungi n'amagezi ag'ekikugu mu by'okulima naddala mu bitundu eby'ebyalo.

BUCADEF ezziddwa obuggya eruubirira okusimbula nate ng'etumbula eby'obulimi n'obulunzi eby'omulembe mu bantu ba Ssaabasajja, okuggulawo emikisa gy'enkolagana nabavujjirizi, okusaasaanya amawulire n'ebiwandiiko ebitongole ebikwata ku BUCADEF eziddwa obuggya n'okuzzaawo ekifaananyi kya BUCADEF nga bwe kyali mu Bwakabaka ne mu bantu ba Kabaka. Wetwogerera nga BUCADEF yakagaba endokwa zemmwanyi ezikunukkiriza mu kakadde akalamba. Ebyembi, bwe bakola bakolera mu kasirise Obuganda ne butamanya.Enkola eyo mbasaba mugikyuse. Twalangirira enkola eyokusimba emiti ku mikolo gyokwanjula. Omulenzi aleeta omuti; ate bwazaalibwa naye naweebwa omuti gwazza mu bakadde. Enkola eno ekola kinnawadda era nsuubira ejja kuyamba mu kukuuma obutonde bwensi.

Kyokka ku mikolo egimu omuko aleeta buleesi muti natalagwa wakugusimba. Twagala omulenzi aba azze okuzaalibwa ye yennyini asimbe omuti mu kifo ekiba kyategekeddwa, so si kuguwaayo buwi.

I. Minisitule y'Obusigansimbi Enteekateeka n'Okukulaakulanya Eby'enfuna

Ekigendererwa kya Minisitule eno kwe kuzza obuggya enkola z'Obwakabaka, okunoonyereza ebyo byonna ebyetaagisa , okuzuukusa enkola essa mu bantu omwoyo gw'okukola n'okussaawo enkolagana wakati wa Buganda namakampuni amatutumufu, ku mutindo gw'ensi yonna, okusobozesa Minisitule okutuukiriza ebigendererwa byayo.

Minisitule erina enteekateeka okussaawo Olusirika buli mwaka okwetegereza engeri emirimu gye giba gitambuddemu ate nokwetegereza ebiba bitagenze bulungi n'okusala amagezi ku ngeri ki gyebiyiinza okuteerezebwa.

Ebitongole by'Obwakabaka byonna ebivunaanyizibwa ku mulimu gw'okutambuza enteekateeka zino bimaze okuzzibwa obuggya era nebifuna ne zi bboodi empya okussa mu nkola ebigendererwa bya Minisitule. BICUL-Pulojekiti ye Kigo(350)

Bannaffe Abachayina be tuli nabo mu mukago batandise okuzimba amayumba aganalabirwako era ng'okusereka kuwedde. Aba BICUL bali mu nteekateeka ya kutongoza pulojekiti eno mu mwezi gwa Kasambula. Ndowooza enteekateeka ngeno ebeera nnungi okujjukirirako Amatikkira ga Ssaabasajja.-Pulojekiti ye Makindye (350)

BICUL yafuna musigansimbi okuva mu Hong Kong era nga yatandika okukola enteekateeka ku biki ebiyinza okuzimbibwaa mu kifo kino. Tusuubira nti polojekiti eno bweneetambula obulungi eyinza okukulaakulanya Makindye nga tuzimbako amayumba agomulembe. Ettaka lye Kigo ne Makindye lya Nkuluze (Mayiro 350) naye BICUL, wansi wa Minisitule yOkusiga Ensimbi ebadde nsaale mu nteekateeka zokunoonya bannamikago betusuubira okulikulaakulanya. Manyidde ddala nti Gavumenti ya Kabaka tereeme kutegeeragana ne Nkuluze ku nsonga zenkulaakulana zino.-K2 Telcom

Enteekateeka zikolebwa okulongoosa enzirukanya ya Kkampuni eno. Abatandisi ba Kkampuni baasaba Obwakabaka butwale obuvunaanyizibwa obwenkomeredde ku nzirukanya ya Kampuni eno. Okusaba kwekenneenyezebwa aba BICUL ne bakisemba ate nange ne nkituusa ewa Mukama wange, Ssaabasajja era nasemba ekirowoozo ekyo.

Kampuni eno ekyali nto era yeetaaga Obuganda bwonna okwongera okugiwagira esobole okudduka obulungi emisinde.

Abakozesa K2 beeyongedde emirundi 15% mu bbanga lya myezi nga munaana egyakayita. Mwenna mukubirizibwa okugyettanira.

MAJESTIC BRANDS

Ebikoleddwa ekitongole kino: - Kino kyekitongole ekitukiikirira buli lwe taagala okugunjaawo emikago

egyenkulaakulana. Buli muntu oba ekitongole kyObwakabaka ekyagala okubaako

abantu/ ebitongole byekyagala okukolagana nabo/ nabyo okufuna obuvujjirizi

oba obudduukirize tulina kweyambisa ekitongole kimu: MAJESTIC BRANDS. Kino kikulu nnyo olwokwagala okwewala okuwubisa bannamikago betunoonya. Twagala bonna bategeere nti mu Bwakabaka bwoba owokukola nabwo emikago oyita mu

kitongole kimu kyokka ekyo.

-Enngoma Luwalo Lwaffe yatongozebwa.

-Satifikeeti empya yatongonzebwa

-Obubonero bw'emiziro obupya bwatongonzebwa

-Edduuka lyebiwundiddwa - Enteekateeka zEbika okukiika embuga nettu. - Ekitongole kitandise okuddukanyizibwa ku musingi ogwomulembe.

Nnamulondo

Ebikoleddwa mu Kitongole kino:

-Endabirira y'ebizimbe

-Obusolooza

-Obupangisa

-Ebizimbe ebirala

J. Minisitule y'Enkuluze:

Minisitule eno yevunaanyizibwa ne ku by'okwerinda: Ensonga z'eby'okwerinda zitambudde bulungi mu myaka ebiri gyetumazeeko era twebaza abo bonna abalafubanye okulaba nga tubeera n'eddembe nga tuweereza Bbaffe. Tufunye obukuumi bwe twetaaga ebbanga lyonna era ne mu mikolo gyonna Minisitule eno tetulekeredde.

K. Minisitule y'Obusuubuzi, Obutale n'Obwegassi

Minisitule eno ettadde mu nkola enkola eyayisibwa KKaabineeti nga 22 Gatonnya 2015 eyitibwa Buganda Farmers Organization Policy n'ekigendererwa eky'okwongera amaanyi mu bibiina by'abalimi abeegassi mu Buganda

Ekigendererwa ky'enkola eno ekiraala kwe kutendeka abantu ba Kabaka ku nnima y'omusingi ogw'obusuubuzi, okusitula omutindo, okufuna obutale obw'awamu, okutereka n'okwewola, okugunjawo emirimu, okukendeeza obwavu.

Okusobola okutuukiriza ebyo waggulu Minisitule eteekateeka okukola bino wammanga:

Okutegeka emisomo egiwa abeegassi obukugu n'okubawabula ku ngeri y'okukungula ekingi ng'ate kiri ku mutindo, n'okubamanyisa ensonga ezikwata ku butale mu Buganda, Uganda n'ensi ezitwetoolodde.

Enkola eno yakusomesa Beegassi era kino Minisitule ekirambise bulungi bweyatandika okulimira abeegassi mu Ssaza ly'e Bugerere ng'ekozesa Tulakita.

Essira mu bwegassi ligenda kuteekebwa ku kulima emmwanyi, ensuku n'okusimba emiti gy'ebibala ku nsalosalo z'ennimiro

L. Minisitule y'Abakyala ne Bulungibwansi

Abakyala ba Buganda baakungiddwa nnyo mu mbeera ez'enjawulo naddala ez'okwekulaakulanya. Bino n'ebisingawo byonna byateeseddwako mu Ttabamiruka w'Abakyala eyabaddewo nga 28/4/2015 ku Hotel Africana. Ttabamiruka ono ategekebwa buli mwaka okusomesa abakyala eby'enkulaakulana nenneeyisa y'abakyala. Tusiima Minisitule olw'enteekateeka eno ey'okusitula omutindo gw'Omukyala mu Buganda.

Enteekateeka z'Ekisaakaate zijjumbiddwa nnyo Minisitule y'abakyala ng'abakyala bakwasizaako Maama Nnabagereka mu kuzimba n'okugunjula abaana ba Buganda ne Uganda.

Buli Nkomerero ya mwezi Ekitongole kikola Bulungibwansi ow'Omuggundu mu Massaza ag'enjawulo n'okusomesa enkola ya Bulungibwansi.

Abakyala basomeseddwa ku nzimba y'amaka amalungi nga mwotadde enkulaakulakulana mu maka n'empisa ezobuntubulamu. Okulambula Kwa Kabaka:

Ssaabasajja Kabaka asobodde okulambula Amasaza ge agawerera ddala era ng'enteekateeka zonna zikolebwako Minisitule eno. Omutanda alambudde Amasaza ge mu ddembe era atambudde bulungi engendo ezenjawulo. Mu mwaka gwa Ddamula guno, Ssaabasajja alambudde Amasaza ge 12.

M. Minisitule y'Eby'enjigiriza

Bino bye bituukiddwaako mu Minisitule eno mu bbanga ery'emyaka ebiri:

Amasomero g'eby'emikono: Minisitule eno essa nnyo essira ku masomo ag'eby'emikono.

Minisitule yatongoza Nnamutaayiika w'essomero lya Bbowa Vocational S.S.S era nebatandika n'okuzimba ekizimbe ekibaririlwa okumalawo obukadde 60,000,000.

Minisitule yakwasibwa ekizimbe, Kasawo Institute of Business and Technical Education Namaliri, Kyaggwe, okuva mu World Vision, era Minisitule ekola butaweera okulaba ng'eteekamu ebyetaagisa okusobola okukituukana n'omulembe.

Buganda Royal Institute of Business and Technical Education - Ku ttendekero lyaffe lino twazimbawo ekizimbe ekirala kya myaliiro 4 era kyaggulwawo Katikkiro nga 31/01/2015.

Lubiri Hish School Buloba Campus - Pulaani empya eraga nga bwe ligenda okufaanana mu biseera ebijja yatongozebwa.

Ebigendererwa bya Kabaka Education Fund :

Mu bbanga ery'emyaka ebiri sikaala eziwerera ddala 1212 ku mitendera gy'eby'enjigiriza gyonna, ze zigabiddwa.

Muteesa I Royal University: Yafuna Omumyuka wa Ssenkulu omuggya, Prof.Arthur Sserwanga. Omumyuka wa Ssenkulu amaze okwetegereza embeera eri mu ssettendekero ono ngamaze nokuwa alipoota. Tusuubira nti mu kati ssettendekero ono atandikidde ddala okutambula, era mumweyunire nga musomesezaayo abaana. Kati aweza abayizi 4500.

Ekivvulu ky'ennyimba, amazina n'emizannyo:. Ekitongolekino mu bbanga ery'emyaka ebiri egiyise kibadde kitegeka ekivvulu kino mu masomero ga pulayimale ne sekendule okuzuula ebitone by'abaana baffe eby'enjawulo nga tuyita mu kuyimba , okuzannya emizannyo n'amazina.

Buli mwaka tubeera n'omulamwa ogugoobererwa era ng'omwaka guno omulamwa gu gamba nti "Tusoosoowaze ensonga Ssemasonga ezinazza Buganda ku Ntikko. Entikko yekivvulu ekyomwaka guno ejja kubeera mu Ssonde S.S.S. nga 27 Ssebaseka era Sssabasajja ku olwo alikwasa abawanguzi engabo.

Ekibiina ky'Ebigezo bya Buganda ekiyitibwa (BECO) Buganda Examination Council) kigenda mu maaso n'okutegeka ebigezo by'okwegezaamu ku mitendera gwa pulayimale ne sinniya.

N. Minisitule y'Eby'obulamu

-Minisitule eno esobodde okunyweza entambuza y'emirimu mu kitongole nga kati mu kitongole mulimu okubulembeze n'abaweereza abalala.-Basobodde okutuusa obujjanjabi eri abantu ba Ssaabasajja mu massaza agawerera ddala 15.-Bajjanjabe abantu abasukka mu 12,384.-Basomesezza abantu engeri y'okwewalamu endwadde

-Bataddewo enkolagana n'abantu, Kkampuni n'amalwaliro ag'enjawulo.-Minisitule efunye ebifo ebiyiinza okuzimbibwamu amalwariro ng'e Butambala, Buddu ne Buruuli.-Minisitule yatongozezza akatabo akakwata ku by'obulamu akayitibwa "Buganda Bulamu"era kasangibwa mu woffiisi za Minisitule wanio mu Bulange, ku Wankaaki wa Bulange , ku Dduuka ly'eby'obulambuzi ne ku Mukwaya General Hospital e Nsambya.-Mu myaka ebiri tubadde n'ennaku z'eby'obulamu entongole mu Massaza ; Butambala, Buddu nga n'omwaka guno olusiisira lwakubiddwa Buluuli okuva nga 28 April okutuuka nga 1 May.

O. Minisitule y'Abavubuka , Emizannyo n'Okwewummuza

Ekigendererwa kya Minisitule eno ekikulu kjwe kukumaakuma abavubuka bonna mu Bwakabaka bwa Buganda, mu bibiina eby'enjawulo. Minisitule eno mwe mugwa eby'emizannyo byonna n'okwewummuza.

- Minisitule eteeseteese ensirika z'abakulembeze mu bibiina ebyenjawulo ng'essira liri ku kubabangula mu bukulembeze. Omwaka guno zaatandika dda mu Masaza ag'enjawulo, nga Buddu, Mawokota ne Ssingo. Waliwo enteekateeka z'okuzituusa mu Massaza ga Buganda amalala.

-Okuyita mu lukiiko oluvunaanyizibwa okulondesa ebibiina by'abavubuka eby'Obwakabaka okulondesa ebibiina by'abavubuka.

-Okulambula n'okwogerako n'abavubuka mu Massaza ag'enjawulo ne mumatendekero mungeri y'okubazzaamu amaanyi.

-Okutereeza obukulembeze mu bibiina by'abavubuka nga tusitula omutindo gwabyo, naddala Nkobazambogo.

-Minisitule eno esobodde okuyitimusa enkolagala n'Obwakabaka obulala (Abavubuka ba Buganda baakyalako e Tooro ku mukolo gw'abavubuka ate nabo ne batukyalira ku mukolo gwa Nkobazambogo). -Okuteekateeka empaka z'eby'obuwangwa (Nkobazambogo Cultural Gala) ne mu Buganda Youth Council (Gomba Cultural Gala). -Okutuuza enkiiko zabakulembeze babavubuka nAbayima baabwe ate nokutegeka emikolo gyabavubuka egyenjawulo.

-Okutegeka emizannyo ate nokuyingiza ssente mu Ggwanika lya Buganda nga tuyita mu mizannyo, emisinde mubunabyalo, emipiira gy'Amasaza negyebika.(Shs obukadde nga 300).

-Okulondo obukiiko obuyambako mu kuddukanya eby'emizannyo, n'okussaawo enkola okutambuzibwa emizannyo mu Bwakabaka (Buganda General sports Council, Buganda Sports policy, Buganda Football Committee n'obukiiko obulala bujja kussibwawo mu bbanga eritali lyewala.-Mu mwaka 2013, Minisitule yagunjawo SACCO eyitibwa (Essuubilyo Zambogo Ssacco)okutereka n'okuwola ensimbi abavubuka ba Buganda. Erina ba Mmemba 543 naye nga mu kiseera kino kye twogerererako baweze 1982. Yatongonzebwa Ssaabasajja Kabaka nga 16/11/13 era eweza shs 261,123,250/- mu kittavvu.

VI. Ebikwata ku baweereza b'Obwakabaka.1.Ekitongole kya Kalondoozi eky'Obwakabaka bwa Buganda kyatandika okukola nga kirimu abaweereza babiri:

Omw. David Bunnaya Sserebe (Eyeebuzibwako[consultant]

n'Omw. Kalule Andrew( atuula mu kkakkalabizo)2.98% ku Minisitule z'Obwakabaka ziwandikiddwamu abaweereza abasusula Eggwanika Lya Buganda okusobola okutwala mu maaso emirimu.3.Ebyeyambisibwa mu kukola emirimu emitongole bibeerawo.4.Enkola (Policies) ezirambika enzirukanya y'emirimu egyenjawulo zikoleddwa era zitandise okugobererwa (okugeza Human Resources Manual; Travel Allowances Policy).

Endala zikolebwako omuli: FInance& Accounting Manual, Volunteers policy.5.Abaweereza bonna balina endagamuntu entongole era bamanyiddwa bulungi nebibakwatako. Buli mukozi yenna mu Bulange twagala ayambale ndagamuntu mu bulago mu ssaawa ezokukola.6.Okumanyisa ebikolebwa mu mpeereza y'emirimu: Baminisita bajja kwogereranga Minisitule ze batwala ku Leediyo buli Lwakubiri ku Ssaawa ttaano ezemisana.VII.Ebisoomooza:-Emisaala gikyali wansi ate nga oluusi girwa;-Ebitongole ebimu tebinnaba kufuna bakugu (technical people) okubitekeratekera olw'obufunda bw'ensawo yEggwanika. Tetunnafuna nsimbi zisobola kusasula Baminisita, Abaami nabalala tulyoke tukomye enkola eyobwannakyewa etatuganya kutambulira ku misinde gye twagala. Amasiro gonna mu Buganda galina okulongoosebwa. - Ekyalo kyebyobuwangwa e Kasubi nakyo tekinnatandikibwako.VIII. OKULANGIRIRA ENTEEKATEEKA EDDAKO. Nga mwenna bwemubadde mulaba, mmaze emyaka kati ebiri nga ntalaaga Obuganda. Wamu ne bentera okubeera nabo tutuuse mu byalo; mu miruka; mu magombolola, mu masaza. Tugenze ebweru wa Buganda ate nebweru wa Uganda. Tuwulidde amaloboozi mangi. Tufunye ebirowoozo bingi. Tufunye amabaluwa mangi. Twogedde nabantu nkumu. Tuwabuddwa; era tuwulirizza. Buli gyetugenda mu Buganda nebweru abantu babadde bangamba nti kati tuzzeeko eddwaliro; abandi nti tutandike ttivvi; abalala nti bbanka ya Buganda. Waliyo nabangamba okutandika amakampuni gobusuubuzi; abamu nti tuzimbe ebizimbe byobusuubuzi (arcade). Nabangambye okwongera ku masomero getulina babaddeyo. Ensonga zonna ezitugambiddw nkulu, era tuzaagala. Tuyina okufuba okulaba nti tuziteekerateekera. Kyokka obukulembeze bukwetaagisa bulijjo okusoosowazanga ensonga. Osoosowaza okusinziira ku bwetaavu; okusinziira ku busobozi; okusinziira ku kabi akaba kalina okwewalwa. Kyemuva mulaba nga twasoosowaza kukuuma, kunyweza nokutaasa Nnamulondo. Ndowooza kya kwenyumirirzaamu kyamaanyi nnyo nti Bukaajumbe yasobola okulambula Bugerere omwaka oguwedde; ate omwaka guno nalambula Buluuli. Buganda eringa maka; singa ssemaka abaako ekisenge ekimu mu nju ye mwatasobola kuyingira kiba kitegeeza nti obuyinza bwe mu maka ge busebengerera. Nze ne bennange bano twalowooza nti tulina okulaba nti Ssemaka atuuka mu buli kanyomero ka Bwakabaka bwe era kino kisimbidde ddala mu Nsonga ya Buganda Ssemasonga Esooka ate ne mu Nsonga Esooka mu ezo Ennya ze twasoosowaza. Twazzaako ensonga yokumaliriza Amasiro ge Kasubi nage Wamala. Wetwakatuuka nawo mulabawo.

Awo twazzaako Masengere twewonye obuswavu obwemyaka ana(ana), anti ekizimbe kino kyatandikibwa mu 1975. Wewaawo ffe kyatuddira mu 1993, naye nemyaka 23 gimala okuswaza omuntu! Ate nga bwemuzze muwulira ensonga eyokuna eyasoosowazibwa, eyokutereeze enzirukanya yemirimu, mu Nkola eyOmulembe Omuggya, nayo mulabye bwe tugitambulirako. Ndowooza awo wewavudde obwesige bwabantu ne bassa mu ngalo zaffe kati obuwumbi obunaatera okuweera omunaana (8) bukya tutandika kutikkula Ttoffaali mu Mutunda 2013. Nnina essuubi ddene nti ebibala ebivuddemu mutandise okubiraba. Nga bwe mbagambye, abantu batuwadde ebirowoozo bingi nnyo ddala ate ebikulu ennyo. Kati nga ffe abakulembeze tulina okulaga abantu ekintu ekisaanidde okukulembera ekirala. Ssaabasajja bwe yamala okusiima tusseeewo akakiiko ku Nyanja ya Kabaka kaatuwa alipootaenzijuvu. Bswetwamala okusoma ebigirimu ne tutya nnyo. Ennyanja eyo eri ku kyapa kya yiika 49. Kyokka waetwogerera nga wasigaddewo yiika 28 zokka. Ku zino yiika 22 ge mazzi; ate ettaka eritaliiko basenzeeko liweza yiika 6 zokka. Okwetoloola ennyanja ettaka lyonna lizimbiddwako amayumba. Bangi ku baazimba amayumba bayiwa kazambi ava mu biyigo mu nnyanja; abalala amazzi ge banaabamu mu binaabiro bagakuluggusiza mu nnyanja. Ettaka bwe lyali terinnazimbwako, enkuba bwe yatonnyanga nga amazzi gayingira mu ttaka. Gaagendanga okutuuka mu nnyanja nga gamaze okusengejjebwa. Wetwogerera, enkuba bwetonnya amazzi gayita kungulu ne gakuluggusa ebisaaniko; ebicupa; ebigoye; ebiveera; ebikebekebe; ebipapulapapula na buli kalonda naggwera mu nnyanja. Kirowoozebwa nti mu myaka kkumi oba kkumi netaano Ennyanja ya Kabaka Mwanga II ejja kuba efuuse lutobazzi; ate mu myaka 20 oba 30 efuuke ekisaalu emeremu nebitoogo kubanga obuwanuvu bwayo bukendeere mmita nga 5 buli mwaka, olwebyo ebigikuluggusizibwamu.

Kyessinnababuulira kiri nti kumpi nayo waliwo abakanikirawo ebidduka nga woyiro bayiwa muli; abalala boolezaako ebidduka, sabbuuni naggwera muli. Emmale ezabeeranga omwo zifudde ziweddewo. Abemiremebe egirijja tulibagamba nti twali tutunudde ludda wa ngennyanja eyasimibwa yokka nemikono ku Ssemazinga wa Afirika eggwawo? Tuteekwa okutaasa Ennyanja ya Kabaka ku Mulembe guno Omutebi. Tuyinza okubagamba nti twasooka ddwaliro, kubanga kkulu nnyo; oba ttivvi; oba bbanka. Nandibadde eddwaliro kkulu, naye waakiri abantu bayinza okugenda e Nsambya; oba e Kibuli; oba e Mulago; oba e Mengo; oba e Lubaga. Ensimbi abantu bayinza okugira nga batereka mu Centenary oba mu Post Bank oba mu Standard Chartered. Ne ttivvi eziraga ebyaffe oluusi noluusi weeziri.

Naye Ennyanja bwesaanawo tunaddamu ne tusimisa endala? Omuganda agamba nti : konoweeka tokalinda kusaaba ttaka. Twewale ennyanja okumeramu ebitoogo; tugitaase; tujjukire obuyiiya bwa jjajja wa Kabaka Mutebi. Bassebo ne bannyabo tutaase Ennyanja. Era eyo gyetugenda okuzzaako. Akakiiko ketwassaawo katuwa alipoota, nga bwennabagambye. Ebyokukola bingi, naye ebisookerwako bya mirundi nga mukaaga: i) Okussa bbugwe okwetoloola Ennyanja; ii) okukugira abayiwa emoitambi namazzi gebinaabiro mu Nnyanja; iii) Okugogola Ennyanja; iv) Okuzibukula ensulo; v) Okusengejja mukoka aleme kuyiika mu Nnyanja ne ntwala ye; vi) Okukolagana ne KCCA okutereeza enguudo ezetoolodde nokuyita ku Nnyaja.

Twassizzaawo Akakiiko akagatta Olukiiko lwa Buganda Twezimbe nAkakiiko akabadde ku gwokwekenneenya ensonga zEnnyanja. Kakulirwa Fred Kiyimba Freeman, nga amyukibwa Kenneth Ssemwogerere nabantu abalala. Bagenda kwetegereza omuwendo gwensimbi ogwetaagisa okukola ebintu ebyo omukaaga. Era bajja nokwetegereza obukugu. Ennyanja tujja kugitandika mu mwezi gwa muwakanya nga Masengere emaze okuggwera ddala. Ebbanga lyetunaasalira abagenda okutaasa Ennyanja ya Kabaka lijja kulangirirwa mu mwezi ogwo.

Ebirala ebinaakolebwa ku mutendera oguddako mulimu bino: i) Okussaako ennimiro eziwummulirwamu nobukubo obwaseminti nobutebe obutuulwako

okwetoloola ii)Okuzimbako wooteeri; iii) Okussaako ekirabo kyemmere (floating restaurant) iv) Okussaako ekifo awabeera emizannyo gyokumazzi (amaato) v) Okussaawo ekkuumiro lyebyennyanja (aquarium) ku mutindo gwensi yonna. vi) Okussaako ekijjukizo kya Ssekabaka Mwanga II.IX. OKUGUMYA OBUGANDA

Njagala okugumya Obuganda nti tulina enteekateeka gyetufumba eyeddwaliro. Tulinanenteekateeka endala ku nsonga endala abantu ba Buganda ze batuwaddeko ebirowoozo. Okuzzaako Ennyanja kivudde mu bwetaavu bwokutangira akabi akEnnyanja eyo okusaanawo mu mulembe gwaffe. Kino bwekituukawo tuliba tetukyasobola kugizzaawo. Mutuwagire mu nteekateeka eno. Mutwesige nga bwemuzze mutwesiga, tetugenda kubayiwa.X. Okwebaza:Njagala okwebaza Ssaabasajja Kabaka olw'okunkwasa obuvunanayizibwa bw'okumukulemebererako Obuganda ate nolwa Baminisita nAbaami beyampa. Nsiima Obuganda bwonna olwokuwagirsa enteekateeka ze twayanjula nga tuluubirira okuzza Buganda ku ntikko. Neebaza Baminisita, Abataka Abakulu bObusolya, Abakiise b'Olukiiko lwa Buganda, Abamasaza n'abamyuka baabwe, Olukiiko lwa Buganda Twezimbe olweddimu ly'okukukuaanya Ettoofaali. Abakungu bonna n'abaweereza b'Obwakabaka mu bitongole byonna; Abeby'okwerinda; bannamawulire na bonna abatukwasirizzaako ku ddimu lino.Nneebaza abakulembeze ebemitendera egyenjawulo omuli abakulembeze beddiini; bannabyabufuzi; abantu abakulu abeebuuzibwako ebyensonga nabalala mwenna olw'ebirowoozo ebyamagezi n'okuwabula byemutuwadde. Mbasuubiza nti nga tuli bumu, era nga Katonda ye Mubeezi waffe, Buganda ejja kudda ku Ntikko.Mwebale okumpuliriza, Katonda abakuume! Ssaabasajja Kabaka Awangaale.... ng'Enkumbi ku Bbega.

CHARLES PETER MAYIGA

KATIKKIRO

Omuko 38